KAMUSWAGA MU AMERIKA: Asabye abaayo okwongera okusiga ensimbi mu Africa
Waliwo ebitongole mu ggwanga lya Amerika ebyettanidde kaweefube w'okulaba ng'abaddugavu abawangaalira mu ggwanga eryo bongera okumanya obuwangwa bw'ekifirika obwenjawulo. Ekimu ku bitongole bino ki African Focus Inc ekye Los Angeles kitegeka emikolo buli mwaka egigendereddwamu okuyingiza abaddugavu mu amerika mu famile z'aAfrica. Ku mukolo gw'omwaka guno Kamuswaga wa Kkooki Apollo Ssansa Kabumbuli ye yabadde omugenyi omukulu ng'ono yakubirizza abaddugavu okwongera okusiga ensimbi mu mawanga ga Africa.