Kaliisoliiso Beti Kamya yeenyumiriza mu byakoze okulwanyisa enguzi mu ggwanga
Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya agamba nti bingi ebituukiddwako woofiisi ye mu kiseera wagikulemberedde mu lutalo lw'okulwanyisa enguzi .Kamya agamba nti basobodde okununula ensimbi z'omuwi w'omusolo eziri eyo mu buwumbi ataano kko n'okuteekawo enkola eyanguyiza bannansi okwenyigira mu lutalo lw'okulwanyisa enguzi .Kontulakiki y'ono eggwako mu mwezi gw'omwenda wabula ngalina okwenyumiriza mu ebyo ebituukiddwako .