Gav’t nneetegefu okutandika okuwandiisa n’okuzizza obujja endagamuntu empya
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'endagamuntu ki National Identification and Registration Authority NIRA kitubuulidde nti kati kyetegefu okutandika omulimu gw'okuwandiisa n'okuzza obujja endagamuntu za bannayuganda.Okusinziira ku minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda Gen. David Muhoozi, buli ekibadde kibatataaganya baakikozeeko dda nga balinze kimu bannayuganda kujja kufuna Ndagamuntu mpya.Abakulu mu kitongole kino be bagenda okusooka okufuna ezaabwe mu kugezesa ebyuma ebijja n'oluvannyuma nga 27 May, omulimu gutandike mu miruka gya district 146.