Enkalu Ku Kya Kassanda: Baabano abattunka okugikiikirira
Nga eby’obufuzi byongera okufuna e bbugumu, e kassanda bannabyabufuzi kati basiiba batabaala byalo okumatiza abalonzi okubalabira nga ddala mu kaseera kokulonda omwaka ogujja. Mu bakeesowolayo kwekuli Dr John Bosco Ssentongo nga ono azze yeyimba mu kifo kino,kyoka nga abalonzi bamusenza luti. Eky’ennaku ne kumulundi guno banne abazze bamuwangula tebalutumidde mwana,era nabo obuwanguzi babwesunga.