Empiso ekubwa abakazi b’embuto ku mugongo | OBULAMU TTOOKE
Olwaleero mu kanyomero kaffe ak’obulamu ttooke tugenda kutunuulira ku mpiso ekubwa ku mugongo na ddala abakyala abalongoosebwa-obulongoosebwa nga bazaala. Bangi batera okulumwa emigongo era okusinga nebakitunuuliza mpiso ebakubwa. Wewaawo empiso eno eyinza okuba ey'obulabe singa ekubwa bubi, naye emigongo egiruma abakazi kikula kino, abakugu batubuulidde kw'egiva era y'emboozi y'obulamu Ttooke.