EMPAKA Z’EBIKA: Ennyange yeddizza engabo mu z’okubaka
Ekika kyenyonyi ennyange kyeddiza engabo y'empaka z'ebika bya Baganda ez'okubaka ez'omwaka guno ezikomekkerezeddwa ku kisaawe kya Mutesa 11 e Wankulukuku. Ennyonyi ennyange ekubye emmamba Namakaka ggoolo 32-27 ku fayinolo. Kino kiddiridde ekika kyembwa okugobwa ku luzanya olubadde luddirira olwakamalirizo olwokuzanyisa abazannyi abatali ba kika ekyo. Mu ngeri y'emu n'omupiira gwebigere kuguddwawo olwaleero e Wankulukuku ng'ekika bazzukulu ba Kanyana ab'engabi ennyunga nga battunka nebazukulu ba kabazzi aba Kasimba.