EMISOLO GAV’T GY’EREETA: Ababaka bagaanye okukkaanya ku gw’amafuta g’ettaala
Eby'okuyisa emisolo ku mafuta bijjulidde oluvanyuma lw' ababaka ba palamenti obuttakaanya ku misolo gino gye balumiriza nti gigenda kwongera ebeeyi y'ebintu okulinya ssaako n'amafuta okuseerebwa.Ababaka era bawakanyiza omusolo ogulina okusasulwa omuntu nga atunze ettaka ogw'ebitundu 5 ku buli kikumi. Bino bibaddewo nga palamenti yekeneenya amateeka ku emisolo saako n'okugayisa.