Embeera ya ‘Eddie Mutwe’ Kyagulanyi ayagala atwalibwe mu ddwaliro
Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu atubulidde nti embeera y’omukumu we Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe yerariikiriza era nga agwana kwanguyirwa okutwalibwa mu ddwaliro afune obujjanjabi obw’ekikugu.Okwogera bino kyagulanyi amaze kukyalira ku Eddy mutwe mu kkomera e Masaka gyakuumirwa, nategeeza nga bwasanze musajja we nga ayenjebuse olw’okutulugunyizibwa okwamutuusibwako mu kifo ekitanamanyika nga kyajje awambibwe.Kinajjukirwa nti ono ku bbalaza ya sabiiti eno yatwaliddwa mu kooti esokerwako e masaka naggulwako emisango gy’obubbi era nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Masaka.