Ekifo awaafiira Rajiv, Minisitule y’ebyenguudo eyogedde lwaki tewannaggwa
Minisitule ye byentambula etubuulidde nti ebbula ly’ensimbi lyelyazing’amya omulimu gw’okuzimba olugudu lwe Busaabala olugatta ku lw'e Ntebe Express nga kuno kwekuli akatundu awafiiridde Rajiv Ruparelia .Minisita w'ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala atugambye nti omulimu gw'okukola oluguudo luno gwazinganma mwaka guwedde mu gw'omwenda nga kontulakita abanja obuwumbi obuli eyo mu 43.Bino w'ebiggyidde nga waliwo amaloboozi ageemulugunya eri gavumenti okulwawo okumalairiza oluguudo luno, lwe bagamba nti kati lufuuse akattiro.