EKIBIRA KYA KABAKA:Kaweefube w’okusimba emiti ku mbuga z’amasaza atongozeddwa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku butondebwensi ki NEMA kikomye okuwa ba musigansimbi olukusa okuzimba amakolero mu ntobazzi kubanga kino kyonoona obutonde bw’ensi. Katikkiro agamba okutaasa obutondebwensi buvunaanyizibwa buli muntu era asabye bannayuganda okwettanira kaweefube w'okusimba emiti. Mumbeera eno obwakabaka butongozza enteekateeka y’okusimba ekibira kya Kabaka ku mbuga z’amasaza n’amagombolola mu saza ga Buganda gonna.