Ekelezia Katolika bagirumirizza okubba ekyapa
Ekelezia Katolika mu ssaza ekkulu ery’e Kampala eri mu kabiga oluvannyuma lw’ebigambibwa nti eriko ettaka ly’omukadde lye yabba bwe yabakwasa ekyapa kye okugira nga bakimukuumira yetaase ku bannakigwanyizi abaali bayinza okumunyagako ettaka lye. Omukadde ono Maria Thereza Nakibuuka omutuuze ku kyalo Bbira-Lubannyi mu Nakuwadde atuuse kufa nga Kelezia ekyagaanye okumuddiza ekyapa kye. Ono yalaama nti bw’afanga tassibwanga mu Ntaana nga Kelezia tenazza Kyapa kye era ku Bbalaza ya ssabiiti eno lwe yafa wabula ab’ekika omulambo bakyagukuumidde mu ddiiro nga bê yalayira balinde Kelezia eveemu omwasi.