Bannamateeka e Masaka beesuddemu jjulume nga bawakanya eky'ebbula ly'abalamuzi
Mu disitulikiti ye Masaka bannamateeka beesuddemu jjulume nga bawakanya eky'ebbula ly'abalamuzi mu kitundu kino naddala ku mutendera gwa kooti enkulu. Basazeewo nti singa ensonga zaabwe teziikolweko, okutandika ne bbalaza ya sabiiti ejja, tebagenda kuddamu kulinya mu kooti. Mungeri y'emu wano e kampala waliwo munnamateeka atutte okwemulugunya mu kooti etaputa ssemateeka ng'ayagala ewere enkola ya kooti okusaba akakalu ka ssente ez'obuliwo eri abeeyimirirwa n'abeyimirira. Okwemulugunya kuno kukulembeddwamu munnamateeka Amos Kuuku, nga kuwuliddwa abalamuzi ba kooti ya ssemateeka nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi Dr Flavian Zeija.