Bannakibiina ki PFF bali mu bitundu bya Bunyoro okukunga obuwagizi bw'ekibiina kyabwe
Abakulembeze mu kibiina ky’ebyobufuzi ki People’s Front For Freedom PFF batandise kaweefube w’okusaggulira ekibiina kino obuwagizi wakati mukweteekerateekera okulonda kwabonna okwa 2026. Bano batandise nansinsinkano yabannakibiina abali mu ttundutundu lya Bunyoro era bakulembeddwa akolanga amyuka ssentebe w’ekibiina mu bugwanjuba Rolland Kaginda eyaliko omubaka wa Rukungiri mu Palamenti.