Eddwaliro lya Kabule lifunye waadi ya mateneti, abatuuze bafunye ku kamwenyu
Eddwaliro lye Kabule Health Centre 3 erisangibwa mu munisipaali ye Mityana lifunye ekizimbe ekipya abakyala webazaalira ekitadde akamwenyu ku matama g'abatuuze mu kitundu kino. Ekizimbe kino ekyawemmense obukadde 250 kyateereddwamu n'ebitanda ebipya 12 okuli n'ebizaalirwako. Kino kyazimbiddwa ab'ekitongole ki Partners for Community Transformation nga bali wamu n'aba Rotary.