Tulina obuwagizi bw’amaanyi - NRM ekudaalidde ab’oludda oluvuganya
Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda mu NRM Tanga Odoi akudaalide ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya ng’agamba nti bikootakoota mu galumonde okuvuganya ekibiina ekiri mu buyinza kuba nga kikyalina obuwagizi obwamaanyi mu bannayuganda. Olwaleero ekibiina lwekikomekkerezza okugaba empapula eri abo abeegwanyiza ebifo by’obubaka bwa Palamenti obwa ssentebe bwa disitulikiti ku kaadi y’ekibiina mu kalulu ka 2026.