EBIRAGIRO KU BUSUULU: Gavumenti etaddewo akawunti okunaateekebwa obusuulu
Minisitule evunanyizibwa ku ttaka, amayumba nenkulakulana yebitundu eyisizza ebiragiro ebipya kunsonga zokussasula obusuulu eri nannyini ttaka. Okusinziira ku biragiro bino ebiyisiddwa Minisita w'ebyettaka Judith Nabakooba, ssente z'obusuulu eri bannyini ttaka abeebulankanya zaakuteekebwanga ku akawunti y'obusuulu eyassiddwawo. Bino w'ebiggyidde ng'a waliwo okwemulugunya ku bannyini ttaka abeepena okukwata obusuulu n'ekigendererwa kyokugoba ab'ebibanja ku ttaka.