Ssebamala ne banne baakuwakanya obuwanguzi bwa Mao mu DP
Bannakibiina ki Democratic party ab'ikiwaayi ekiwagira Richard Ssebamala baddukidde mukooti okuwakanya obukulembeze bwa Nobert Mao nebane bwe baalondebwa ku bukulembeze b'ekibiina. Bano bagamba nti emitendera egiyitibwamu okulonda obukulembeze buno tegyagobererwa. Kati baagala kooti esazeemu okulonda okwaliwo ekibiina kitegeke okuala okutaliimu mivuyo.