E Masaka waliwo abaana abalwanye ne bazadde baabwe lwa ttaka
Waliwo abaana abavudde mu mbeera ne bakubagana n’abazadde baabwe nga obuzibu buva ku kutunda kibanja kumpi kukimalawo. Abaana bagamba babadde basinziira ku kibanja kino nga balundirako ensolo mwe bajja ensimbi ezibeezaawo bazadde baabwe kyokka abazadde ekibanja bakimazeewo nga bakitunda. Bino bibadde ku kyalo Kyangoma mu ggombolola y’e Kingo mu district y’e Lwengo.