Abavubuka ba NRM bali mu kaweefube w’okusiguukulula NUP e Mpigi
Oluvanyuma lw’ekibiina ki NRM okwongera okunafuwa mu byobufuzi bye mpigi , abavubuka bekibiina kino batandise okusala amagezi ku butya bwebayinza okuzza embavu mu kibiina kyabwe kino. Bano bagamba nti mu mwaka 2026 kyebaagala okukola kwekusimbawo abavubuka abakyalina e mbavu ku buli kifo- basobole okwang’anga banaabwe abavuganya gavumenti naddala aba NUP. Kyoka kino abakulu mu kibiina balabika nga bakifunyeemu e nkenyera.