Eddie Mutwe azuuse! leero aleeteddwa mu kkooti e Masaka, agguddwako emisango
Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe omu ku bakuumi ba Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi, kyaddaaki aleeteddwa mu kkooti e Masaka gye bamugguliddeko emisango egyenjawulo egyekuusa ku bubbi n’okukuba bannamawulire. Ssebuufu alabise nga munafu nnyo agattiddwa ku fayiro y’omusango ogwaggulwa ku banne okuli Grace Wakabi, Achileo Kivumbi ne Gadafi Mugumya abali ku alimanda ku misango gyegimu.Ono naye asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Masaka okutuusa nga 25 omwezi guno.