EBY’OKWEYIMIRIRA MOLLY KATANGA: Kkooti etaddewo nga 21, May okuwulira okusaba kwe
Kkooti enkulu mu Kampala , etaddewo olwa 21st/May okuwa ensala yaayo ku kusaba kwokweyimirirwa nate okukoleddwa Molly Katanga,.Molly Katanga avunaanibwa emisango egy'ekuusa ku kufa kwa bba Henry Katanga mu November w’owaka oguwedde.Guno mulundi gwakubiri ng’ono asaba okweyimirirwa nga ogwasooka mu April, Kkooti enkulu eno yagaana. Ku mulundi guno okusaba kwe akutaddeko alipoota okuva eri abasawo mu ddwaliro. Bannamatteeka be bategeezeza nti engeri kkooti gyetalina buzibu nebeyaleeta okumweyimirira mu kusooka , nokuzuula nti alina ekifo ekyenkalakkalira ekimanyiddwa yetaaga okukirizibwa okweyimirirwa .Ssaabawaabi wa gavumenti tanaddamu kusaba kwa Katanga kuno wabula nga ye omulamuzi Isaac Muwata ategeezezza nti wakuwa ensalawo ye nga 21st May omwaka guno.