EBY’OKUZIIKA PTE. SABIITI: Amagye gagamba amateeka tegabakkiriza kubyetabamu
Amagye gategeezezza nga bwe gatagenda kuziika Private Wilson Sabiiti eyasse mukamaawe abadde minisita ebadde Charles Okello Engola ku lw'okubiri lwa wiiki eno naye neyeggya mubudde. Okusinziira ku magye omujaasi akoze ekikolwa nga ekya Sabiiti amateeka gabwe tegabakkiriza kumuziika nga munnamagye omujjuvu.