Eby’okuwaayiriza omusumba, abavubuka batandise okuwa obujulizi ku Kayanja
Abavubuka mwenda abavunaanwa ogw’okwogera eby’ensimattu ku musumba w’abalokolere Robert Kayanja leero batandise okuwa obujjulizi mu kkooti ento eya Mwanga 11 e Mengo.Abavubuka bano omwenda omwaka oguwedde mu mwezi ggwa November kooti yakisuula nga balina omusango gw’okwewozaako ku bigambibwa nti basaalimbira ku kanisa y’omuusmba Kayanja, tebaakoma okwo nebamwogerako ebyakasalo nti yeetaba mu bikolwa ebyokuvuga empaka.Kati bano leero besimbye bwantoogo mu maaso ga kooti nebalumiriza omusumba okubakolako ebyensonyi mu nkola ey’ebikukujju.