EBY’OKUSOMA E NTOROKO: Abayizi sibaakutandikirawo, amasomero gakyatubidde mu mataba
Ng'amasomero okwetoloola eggwanga gaddamu okuggulawo eri Abayizi oluvannyuma lw'omuggalo ogumaze kumpi myaka ebiri, okusoma kw'abayizi abali mu ggombolola ye Kanara mu disitulikiti e Ntoroko kukyali mulusuubo kubanga mangi ku masomero mu kitundu kino gatubidde mu mataba agaazinza ekitundu kino mu 2019. Ssaabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti embeera mu kitundu kino ssaako n'ebirala ebyagwamu ebibambulira bagimanyi era nga bakola kyonna okulaba ng'abayizi baddamu okusoma nga tebatataganyiziddwa