E Jinja abawagizi ba NRM bakubaganye
Waliwo abantu abasukka mu kkumi ku kyaalo Loco mu kibuga Jinja abadusiddwa mu ddwaliro nga battonya musaayi oluvanyuma lwokulwanagana okwabaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero wakati wabawagizi babesimbyewo ku kifo kyobwa meeya wa Jinja Southern Division wakati ng’ebula ssaawa mbale akamyufu k’ekibiina kyabwe ki NRM ku ba meeya ne ba ssentebe ba district kutuuke. Waliwo n’ebidduka ebyokeddwa nga abakoze bino bateeberezebwa okuba abawagizi ba Kitakule Faruwa ababadde bagezaako okulemesa aba Anjoga Rogers Egesa okuyisa ebivulu.