Bajeti ya 2025/2026 eyisiddwa :Ya buse 72, ezisinga zaakusala mabanja
Olwaleero palamenti ekkiriza embalirira y’omwaka gw’eby'ensimbi 2025/ 2026 nga eno ya trillions 72.374 kyoka nga ku nsimbi zino trillions 27 oba ebitundu 38 ku buli kikumi zigenda mu kusasula amabanja nga kino kireesewo ebibuzo ku butya eggwanga bwerigenda okutambuza emirimu ku nsimbi entono ezigenda okusigalawo. Kitegerekekse nti mu mbalirira eno gavumenti tetaddeemu ssente zigenda kugula ambulance kyoka n’omwaka gw'ebyensimbi ogunaatera okukomekerezebwa gavumenti teyaguze ambulence, kyokka nga egamba erina enteekateka eziteekawo ambulance ezitalambuluddwa.