BADMINTON W’ABALIKO OBULEMU: Amawanga 19 ge gagenda okwetaba mu z’e Lugogo
Amawanga kkumi na mwenda okuva mu nsi yonna ge galindiridde okwetaba mu mpaka za badminton w’abaliko obulemu ezitandika ku ntandikwa ya wiki ejja e Lugogo. Empaka kino eziyitibwa Uganda International Para-badminton ze zimu kwezo abazannyi mwe bakungaanyiza obubonero obuyamba okuyitawo okukiika mu mpaka zensi yonna ezenjawulo.