EMPAKA ZA CHAN: Ttiimu ya Cranes esiibye yeetegekera Niger
Ttiimu y’egwanga ey’omupiira Uganda Cranes amakya ga leero efunye okutendekebwa okusembayo nga yetegekera okuttunka nè Niger mũ mupiira gwabwe ogwokusatu mũ kibinja C eky’empaka ez’abagukyangira awaka eza Chan ogunabeera e Namboole olunaku lw'enkya. Uganda enoonya buwanguzi okwongera okunyweza n'okutangaaza emikisa gyayo mu mpaka zino oluvannyuma lw’okukuba Guinea ggoolo 3-0 ku Lwokutaano luno.