NAZZIKUNO: Engeri ab’edda gye baakolanga enkata eyitibwa ekitengo
Okusaanika entamu y'ebbumba nga etudde butereevu ku ttaka tekyaali kyangu era ezisinga zaayatikanga, ekintu ekyatakuza ennyo bajjajaffe emitwe.Bano baalaba kissuse obw’omulamuzi, kwekutandika okuzikolera ekikata kwebazituuza akageri ezisinga ke zaali nga entobo yaazo nga nsongovu. Mu Nazzikuno waffe olwaleero tukuleetedde emitendera gyona gye baayitangamu okukola ekikata kino ekitiyibwa EKITENGU nga bw’obaako amaka mw'okisanze ku mulembe guno weesunako.