Enzikiriza ya Buddha ewezezza emyaka 20 bukya etandika mu Uganda
Akulira enzikiriza ya Budha mu Uganda Dr. Stephen Kaboggoza Buddharakkhita ayagala gavvumenti ewandiise enzikiriza eno esobole okunnyikizibwa obulungi n'okutuukiriza obuweereza bwayo.Wano mu Uganda, Enzikiriza eno yatandika mu mwaka gwa 2005 era nga wetwogerera ewezezza emyaka 20.Enzikiriza eno esoosowaza nnyo emirembe ssaako okusaa ekitiibwa mu bantu n'obutonde .