Ba kalidinaali beesozze ekisenge balonde Paapa omuggya
Wetwogerera nga bakalidinaali 133 okuva mu nsi yonna bamaze okwevumba akasenge ka Sistine Chapel mu Vatican okutandika okwenonyaamu paapa agenda okuda mu bigere bya Paapa Francis eyafa ku nkomerero y’omwezi oguwedde.Agavaayo galaga nga abanti bwebakwatiridde mu kibangirizi ku St Peters Square amaaso bageegese ekisenge omuli bakalidinaali bano okulonda omukka omweru ogulaga nti paapa alondeddwa. Singa tewabaawo kikyuka,okalulu akasooka kaakukubwa nkya wakati saawa 7:30 ne saawa 8:30 ez’okumkaya.