Amateeka g’okulonda Paapa bwegati bwe gazze gakyuka okumala ebyasa
Okumala emyaka n’ebisiibo, okulonda ba Paapa kuzze kukyuka, olw’ensonga nti buli nkola ebadde ereetebwa ebaddenga n’okuwakanyizibwa, nga kino kyaviirako ne ba papa abamu okufuna obuzibu.Nazzikuno, ekifo kino kyabanga kya nkizo, era nga yenna akituulamu asobola n’okukyusa mũ bulombolombo bwa Kelezia.Olwaleero, tugenda kutegeera obuvo n’obuddo bw’okulonda ba paapa na butya bwe kuzze kukyuka.