Alipoota egamba bannayuganda ssente bazimalira ku mmere na mwenge
Tukitegedde leero, nti bannayuganda abasinga obungi ensimbi zebafuna bazimalira kusinga ku mmere na byakunywa ebitamiiza. Bino bibadde mu alipoota y'ekitongole ky’ebibalo era engeri bannansi gye bayimiriddemu mu byenfuna. Abakulu kyokka basanyufu nti obwavu bwo bwongedde okukendeera na ddala mu bitundu by'obukiikakkono. Alipoota y'emu eraga nti eggwanga terinaba kukola bulungi nnyo mu by'obulimi n'amakolero olw'ensonga ezitali zimu zebannyonnyodde.