Mu Makindye omulimu gw'okuddaabiriza enguudo gutandika akadde konna
Abakulembeze mu minisipaali ya Makindye Ssabagabo batubuulidde nga omulimu gw’okuzimba enguudo eziwerako mu munisipaali eno wansi w’ekiwendo ki Greater Kampala Metropolitan Area bwegugenda okutandika akadde konna.Tukitgedde nti enguudo munaana zigenda okuteekebako kolaasi mu kitundu kino nga zakuwemmenta obuwumbi 64.Kyoka bano basabye abatuuze okuwaayo ettaka kyeyagalire okuzayirizaako enguudo zino,kubanga ssente z’okubaliyirira banka y’ensi yonna teyazibwa.