Kampuni ezikola enguudo mu Kampala zaasuulawo dda emirimu
Kizuuse nga ezimu ku kampuni ezaali zikola enguudo mu kampala zasuulawo emirimu , ekitandise okukosa abatuuze abaziri okumpi. Abatuuze bagamba nti enguudo ezimu tebakyasobola kuzikozesa, entala zittunka enfuufu buli musana lwegwaka- kyoka nga tewali kabonero kalaga nti abaali bazikola baakukomawo. Kyokka abakulu okuva mu minisitule ye byengudo batugambye nti baafunye ensimbi abakola enguudo ze babade babanja, kale nga akadde konna baakuddamu bakole.