Akamyufu ka NRM, abakulembeze bakkirizza nti kaabaddemu emivuyo
Akulira eby’okulonda mu NRM Dr. Tanga Odoi alabudde abeenyigidde mu mivuyo egyalabikidde mu kalulu ka NRM nti bagenda kukolebwako ng’amateeka bwegalira.Ono ategeezezza nti mu bitundu ba RDC mwebeenyigidde mu mivuyo gino bagende kulonkomebwayo ew’omukulembeze w’eggwanga era ssentebe w’ekibiina Yoweri Kaguta ate abo abaabadde bavunaanyizibwa ku kulondesa abaakyusizzakyusizza ebyavudde mu kulonda bagenda kujjibwako ebifo byabwe.