Akakiiko ke by’okulonda aka NRM kagamba ensobi ezasooka kaakuzeewala
Abakulu mu kakiiko ke by’okulonda aka NRM baweze nga bwebatagenda kusaagirira na muntu yenna atekateeka okuleeta e mivuyo mu kulonda kw’enkya, bannakibiina bwebanaaba balonda abanaakwatira NRM bendera ku bifo okuli ekya bameeya b’ebibuga,egombolola kko ne basentebe ba disitulikiti. Tanga Odoi agambye nti okwawukanako n’akamyufu ka sabiiti ewedde ku mulundi guno beetegese ekimala okukakasa nga okulonda kuba kwa mirembe. Kyoka ono nakati akyali mwennyamivu olw’emivuyo egyabadde mu kulonda kwa sabiiti ewedde, nga agamba nti gyatattanye ekifananyi kyekibiina.