AKABENJE KU NNYANJA NALUBAALE: Ekinaala kibbise 34 mu mazzi, 20 bafu
Poliisi y’okumazzi ekyakola butassa-mukka okuzuula abantu abagambibwa nti basoba mu 20 abakyabulidde mu Nyanja Nalubaale oluvannayuma lw’ekinaala mwe baabadde batambulira okubbira.Emirambo etaano gy’egibadde gyakannyululwa wetugidde ku mpewo n’abantu kkumi abaasimattuse akabenje kano.Ekinaala kino kyabadde kiseyeeya kuva ku mwalo ogw’e Bukasa nga kyolekera Kasenyi mu town council y’e Katabi ku ssaawa nga kkumi n’emu akabenje wekaagwiriiddewo.