ACHILEO KIVUMBI: Alabiseeko mu kkooti y’amagye, emusindise ku alimanda
Achileo Kivumbi akulira abakuumi ba pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi asimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye n'aggulwaako omusango gw’okuba n’ebintu ebyekuusa ku magye. Okusinziira ku ludda oluwaabi, ono yasangiddwa n’ennyota z’amaggye mubukyaamu. Kivumbi yakwatibwa ssabiiti ewedde mu ngeri ey'okuwambibwa, ekyaleetawo obunkenke mu kibiina kye ne famire.