Abavuzi ba ddigi mu mawanga ga East Africa baakuttunkira e Masaka
Abavuzi ba diigi z’empaka okuva mu Uganda Kenya ne Tanzania begezeza bafumudde enfufu nga begeza mu makubo ku E Villa e Kalisizo mu district y’e Masaka nga betegekera okutunka mu mpaka za amawanga ga’obugwanjuba bwa Africa ezijibwaako akawuwo olunaku lw’enkya. Empaka zino era ze z’oluvuga olw’okusatu ku kalenda y’omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga.