Amazike agatawaanya ab’e Mubende: UWA: Ekibira mwe gaali gabeera kyasaanyizibwawo
Kitegeerekese nti eky’okusaanyawo ekibira ekiyitibwa Kyampisi Forest Reserve e Mubende kyekivuddeko amazike okutandika okusaalimbira mu maka g’abatuuze era nga mu kiseera kino bangi bawangaalira mu kutya Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’omunsiko bagamba nti ekibira kino kirimu amazike gabika bisatu agatalina wegabeera oluvannyuma lw’emiti gi nnansangwa mu kibira kino okutemebwaBano batubuulidde nti baayungudde basajja baabwe okukugira amazike gano okutuuka mu bantu.