Ettemu e Luwero: Bishop Mukasa ayagala abavubuka beddeko
Guweze omwaka mulamba bukyanga Lawrence Mukasa alondebwa ng'omusumba w'essaza lya Kasana Luwero, okudda mu bigere bya Paul Ssemogerere eyalondebwa ku bwa Ssabasumba wa Kampala. Bishop Mukasa yakulembeddemu ekitambiro kya missa olwaleero mu kujjaguza emyaka 61 egy'ekigo kya St. Joseph Katikamu ate n'okujjagulizaako okuweza omwaka mulamba bukyanga alondebwa ng'omwepisikoopi. Ono yeekokkodde ebikolwa by'obumenyi bw'amateeka mu bavubuka abatuuka n'okutta bakadde baabwe olw'ebyenfuna.