Musazeemu ebyapa: Nabbanja alagidde ku by’e Kikuube ebyagabwa mu bukyamu
Ssaabaminisita Ropbinah Nabbanja alagidde ekitongole ekivunanyizibwa kubyettaka mu disitulikiti ye kikuube okusazaamu ebyappa byettaka munana ebigambibwa nti byakolebwa mubukyamu. Kino kidiridde abatuuze mu kitundu kino okwekubira enduulu eri Ssaabaminisita nti waliwo abantu abakuba ebyappa ku ttaka lyabatuuze era nga kati basula ku tebuukye Nabbanja yabadde mu disitulikiti ye Kikuube ku mikolo gy’okukuza olunaku lwabakyala gyekitegeeredde nti bangi ku bantu abaatwala ssente z'okwekulaakulanya ez'abavubka n'abakyala tebazizzanga.