Essinzizo erigatta eddiini: Ery’e Kilembe, abakatuliki n’abakulisitaayo basabira mu mpalo
Waliwo esinzzizo erifuuse ery’obwewuunyo mu distulikiti y’e Kasese erirese abantu mu kwewunyaganya. Esinzizzo linno ligabanyizibwa wakati w’abenzikiriza y’obukatuliki wamu n’abekkanisa ya Uganda nga banno basabiramu mu mpalo. Tutegeezeddwa nti kino kikolebwa olw’ebbula ly’amasinzizo mu kifo kino.