Abateberezebwa okwagala okugoba abatuuze ku ttaka bakwatiddwa
Waliwo abatuuze ku kyalo Kikooge mu gombolola y’e Rwabyata e Nakasongola ebeekozeemu omulimu n’ebabaako abantu 2 bebakutte nga bambadde ebyambalo by’amagye bebalumirizza nti babadde baaleteddwa omugagga omu okubagoba ku ttaka kwebawangalidde emyaka n’ebisiibo. Ettaka lino eriwezza obugazi bwa Square mailo ttaano kigambiwa nti lyali lya Gavumenti kyoka newabaawo mugagga alifunako liizi nga kati yabagoba.