Abasomesa ba Arts baakugenda mu maaso n’akeediimo
Abasomesa b'amasomo ga arts mu masekkati n'ebitundu by'eggwanga ebirala wansi w'ekibiina kyabwe ki Uganda Professional Humanities Teachers Union bazize enteekateeka gavumenti zeyataddewo okusobola okubongeza omusaala mu bituntutundu.Bano bagamba nti enkola eno era y'emu yabasuubizibwa abakulu, wabula emyaka gizze gye toloola nga tebassa mu nkola kisuubizo kyabwe.Kye baagala,. gwe musaala gwabwe okulinnyisibwa omulundi gumu, era bakkaanyiza wamu okusigala nga bakyegugunga okutuusa nga kye baagala, gavumenti ky'ekoze.