Ttiimu ya Cranes : Uncle money awangudde ez’omuwagizi omukulu
Jackson Sseanyana amanyiddwa nga Uncle Money y'awangudde empaka z'omuwagizi omukulu owa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda Cranes. Ekibinja kya Uncle money n'ebibinja ebirala bibiri okuli ekya Dressers abakutte ekyokubiri ne Team Kamodo ab'okusatu baakuweebwa endagaano y'amwaka gumu mwe bagenda okukulira abawagzi ba ttiimu y'eggwanga mu mipiira egya wano n'ebweru. Bano baakutandikira mu nzannya z'okusunsulamu abanakiika mu kikopo kya Africa Afcon mu September.