‘SIRINA GYENDAGA’: Tanga Odoi asekeredde abamusekeeterera
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi atubuulide nti eby’okulonda mu kibiina bikyamuli mu taamo, newankubadde omukulembeze w’eggwanga olunaku lw’eggulo yeemulugunyizza ku ngeri gyeyakwatamu okulonda okwaliwo wiiki ewedde. Ono agamba nti omutwaana gwonna ogumuvumaganya gwaviira ddala ku bakola ku by’okulonda ku byalo, ssossi yye ng'omuntu mu kaseera kano ateereddwa ku nninga.