Embiranye mu maka ga Prof. Kateregga: Alumiriza poliisi okubyeyingizaamu
Omutandisi wa ssettendekero wa Kampala University Professor Badru Katerega, alaze obwennyamivu olw’engeri ekitongole kya poliisi gyekikuttemu nsongaze ku misango gyazze awaaba ng’agamba nti ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kizze kizitemerako ettaka. Wabula ayogerera poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke ategeezezza nti ensonga za Kateregga zaggwa dda okunoonyerezaako era omuwaabi wa gavumenti n’abawa amagezi okuggulawo omusango mu kkooti. Ensonga ezogeerwako ze z’obutabanguko obwazinda amaka ga Prof. Kateregga ng'agalumiriza mukyala we Jolly Shubaiha Kateregga okwagala okumumiza omusu n’okutwala ebintu bye.