ZUNGULU: Abalonzi ba NRM bangi na kati bakyebuuza engeri akalulu k'ekibiina gye katambuddemu
Abalonzi ba NRM bangi na kati bakyebuuza engeri akalulu k'ekibiina gye katambuddemu nga bangi balumiriza nti baabadde bangi mu nnyiriri naye ate ababazi obwedda babala kifuula-nnenge. Bbo abataalonze baasigadde bakuba bulatti, nga bagamba nti kati okudda mu mivuyo ng'egyo, eyeesimbyewo alina kusooka kubawa ssente. Ogenda nakulaba abazze okulonda naye nga tebamanyi na mannya ga ba candidate bebasimbye emabega. Byonna mu ZUNGULU.